Amawulire

Eyasobya kumwana wémyaka 3, asibiddwa emyaka 15

Eyasobya kumwana wémyaka 3, asibiddwa emyaka 15

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejulirwamu ereseewo ekibonerezo eky’emyaka 15 ekyaweebwa omusajja oluvanyuma lw’okusobyaku mwana wa sister we ow’emyaka 3.

Karamura Robert asibiddwa abalamuzi 3 aba kkooti ejulirwamu okuli Richard Buteera, Irene Mulyagonja ne Eva Luswata.

Oludda oluwaabi lugamba nga December 6th 2007 omuvunanwa yasobya ku mwana wa mwanyina era nga kaggwa ensonyi ono yali aze kukyaala.

Ono yakikola kiro nga abantu bona bebase era nga bawulira mwan ng’akaaba ekyabawewemula mutulo nebasanga nga kkojja we amukolako ebyosonyi.

Omusango gwadizibwa ku kyalo Ntunda, Ntwetwe in Kiboga District.