Amawulire

Eyasobya kumwana owémyaka 10 asibiddwa emyaka 23

Eyasobya kumwana owémyaka 10 asibiddwa emyaka 23

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejulirwamu esalidde omusajja ow’emyaka 60 ekibonerezo kya kusibwa emyaka 23 lwa kusobya ku muwala ow’emyaka 10.

Omusango guno Fred Bamuwaira yaguza nga July 19th 2012, nga yalina emyaka 47, oluvanyuma kkooti enkulu yasingisibwa omusango gwókujjula ebitanajja era naweebwa ekibonerezo kyakusibwa obulamu bwe bwonna.

Wabula yajjulira ku kibonerezo kino ng’agamba nti kyali kikambwe nyo.

Abalamuzi basatu nga bakulembeddwamu Geoffrey Kiryabwire kati basazizamu ekibonerezo ekyokubeera mu kkomera obulamu bwe bwonna nebamukaligga emyaka 23.

Bakkiriziganyizza nti ddala Omujjulirwa tayonoonye budde bwa kkooti akkiriza nti omusango yaguza kwekumukendereza ku kibonerezo.

Omuvunanwa yasisinkana Nabwire Janati, mu kiseera ekyo eyali ow’emyaka 10, mu kkubo ku lusozi lwa Disitulikiti y’e Bugiri eyali atambula ne muganda we Issa Wandera, naamugyako byeyali yettise namukyamya mu nsiko namumalirako ejjakirizi.