Amawulire

Eyasobya ku mwana owemyka 3 asindikibwa mu kkooti enkulu

Eyasobya ku mwana owemyka 3 asindikibwa mu kkooti enkulu

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omuwabi wa gavumenti Jane Frances Abodo alagidde kooti etandike okuwulira omusango gwomusajja wa myaka 43 agambibwa nti yadda ku kaana ka myaka 3 nakatunuza mu mbug ya sitaani.

Omusajja ono omutuuze w’e Kyebando mugombolola yé Kawempe abadde mu kooti ya City hall mu maaso g’omulamuzi Fatuma Nabirye, kyoka olwóbunene bw’omusango gwe kwekusalawo okumwongerayo mu kkooti enkulu.

Munnamateeka wa gavumenti agambye kkooti nti bamaze okufuna obujjulizi bwonna bwebeetaga, nga ekibulayo kumusimba mu kooti enkulu abitebye

Kigambibwa nti omusajja ono nga amaze okukwata omwana ono yamutwala ku poliisi ye Kyebando oluvanyuma lwokumukozesa ekiro kiramba.