Amawulire

Eyasobya ku mwana ow’emyaka esatu akaligiddwa.

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Omusajja  agambibwa  okusobya  kumwana  omujja na nyina ow’emyaka essatu  gyoka n’amusiiga mukenenya avunaniddwa  era nadizibwayo ku meera e Luzira.

Katende Asuman asimbiddwa mu kkooti  enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo, wabula omusango gw’okusobya ku bujje nagwegaana.

Kkooti ekitegedeko nti omwana ono yajja n’enyina era nga Katende weyamusobezako yeyali nga kitaawe.

Ono omusango yaguza mu February wa 2015 e Nateete mu Kajubi zone, era nga ebanga lino lyona abadde akumibwa mu komera e Luzira okutuusa lwagiddwayo atandike okuwerenemba n’omusango.

Kati wakudizibwa mu kkooti nga June 12th omusango gutandike okuwulirwa.