Amawulire

Eyasobya ku mwana owémyaka 3 asibiddwa emyaka 25

Eyasobya ku mwana owémyaka 3 asibiddwa emyaka 25

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Agambibwa okusangibwa lubona mu mwezi gwe 11 mu mwaka gwa 2010 ngasobya ku mwana omuto mufumbiro lya jjajjaawe gwe yali awangala naye asibiddwa emyaka 25.

Mukundane Edison asibiddwa abalamuzi bassatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu amyuuka ssabalamuzi wa Uganda Richard Buteera.

Oludda oluwaabi lugamba nga November 22nd 2010 ku kyalo Ryakanyonyi mu District ye Bushenyi, Mukundane yasangibwa nga yegadanga n’omwana owemyaka 3 oluvanyuma lwokumusuubiza okumuwa omugaati.

Kigambibwa nti Mukundane yasanga omwana ono mufumbiro ng’atudde nga jjajja we taliiwo natandika okumusobyako n’amusuubiza okumugulira omugaati era namwambula naye yali yakatandika omwana naleekaana, ekyawaliriza jjajjaawe okutuuka mufumbiro kwekubasanga.

Omukadde yalaya endulu eyaleeta abatuuze ne bamugoba Mukundane nakwatibwa.

Omusango gwawulirwa nasibwa emyaka 25 mu kkooti enkulu eye Mbarara ekyamuleteera okwekubira enduulu mu kkooti ejulirwamu ng’agamba ekibonerezo ekyamuwebwa kyali kinene.

Wabula abalamuzi 3 bakiriziganyiza ne bamulagira akole emyaka 25 mu kkomera kuba tebalaba nsonga yamugundu lwaki bakisazaamu.