Amawulire

Eyasobya ku mwana atanetuuka asibiddwa emyaka 16

Eyasobya ku mwana atanetuuka asibiddwa emyaka 16

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kooti esalidde omusajja, eyasobya ku mwana atanetuuka ekibonerezo kyakukola busibe emyaka 16.

Kanini Wilson abalamuzi ba Kkooti ejulirwamu 3 emukenderezza ku kibonerezo ekyamuweebwa oluvanyuma lwekwekeneenya obujulizi obwaletebwa.

Oludda oluwaabi lugamba zaali ennaku ‘zomwezi 16 June mu mwaka gwa 2016 kkooti enkulu e Masaka nemusingisa omusango gw’okusobya ku mwana atanetuuka.

Mu kusooka baali bamuwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 30, naye abalamuzi bamukenderezaako.

Abalamuzi bagambye nti ddala omusango yaguzza naye ekibonerzo ekyamuweebwa kyasukka bukambwe, kwekukinedezaako.

Omwana eyasobezwako yali wamyaka 10, yamusobezaako mu kibira kya Kalitusi ku luzzi nga mwanyina ow’emyaka 8 alaba.