Amawulire

Eyasobya ku mwana akaligiddwa.

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Omusajja  ow’emyaka 30 awereddwa ekibonerezo kyakwebaka  mu kkomera e Luzira okumala emyaka 7 lwakwegadanga na mwana  muto ng’akimanyi bulungi nti alina akawuka akaleeta mukenenya.

Kakooza Bosco asimbiddwa mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Kazibwe Moses amuwadde ekibonerezo oluvanyuma lwa ye kenyini okukiriza omusango.

Kakooza ategezezza omulamuzi nti yakozesa omuwala ono ow’emyaka 15 gyoka kyoka mukiseera ekyo yali takimanyi nti alina akawuka akaleeta mukenenya.

Omulamuzi amuwadde ekibonerezo ekisaamusaamu kuba omwana eyasobezebwako  teyafuna kawuka kano

Omusango yaguza nga August 19th 2016 e Mutungo zone 5 mu division ye Nakawa wano mu Kampala.