Amawulire

Eyasobya ku muwala we bamusibye emyaka 20

Eyasobya ku muwala we bamusibye emyaka 20

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Kooti enkulu e Masaka eriko omusajja owemyaka 32 gwesindise mu nkomyo yebakyo emyaka 20 olw’okusobya ku mwana we.

Moses Byaruhanga omutuuze mu district ye Rakai abadde mu maaso gomulamuzi Winfred Nabisinde nakirizza omusango.

Oludda oluwabai nga lukulembeddwamu Amina Akasa bategezezza kooti nti Byarugaba comusango yaguzza nga 4th mu May wa 2015, ku kyalo Kiswera bweyakakana ku mwana mujja nannyina, owemyaka 8 namukaka akakboozi.

Kati omulamuzi Nabisinde agambye nti abantu ngono ba bulabe nnyo, kubanga bateeka obulamu bwamabujje okukwatibwa akakwuka ka mukenenya.

Agambye ni amujiddeko omwaka 1 olwobutayonoona budde bwa kooti nemyaka 4 gyamaze ku alimanda.