Amawulire

Eyasobezza ku muwala we owe’myaka 11 bamukutte

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2018

No comments

Bya Malikh Fahad

Police ye Lyantonde eriko omusajja owemyaka 29 gwegalidde nga kigambibwa nti yakidde muwala we namusobyako.

Omukwate mutuuze ku kyalo Kinoni mu gombolola ye Kaliiro mu district ye Lyantonde nga kigambibwa yatuzizza kawala ke akameyaka 11 ku mbuga ya sitaani.

Okusinziira ku balirwana bomusaja ono, bamuguddeko lubona ngasinda omukano ne kawala ke era mu bukambwe bagezezaako okumukuba, naye poliisi nemutaasa.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu Lameck Kigozi akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono, nga kati bamututte akeberebwe okuzuula obanga tabadde na kawuka ka mukenenya.

Poliisi egamba nti omukwata aganda kugulwako misango gya kusobya ku muwala we atanetuuka.