Amawulire

Eyasobeza ku Mukazi námutta agombedwamu obwala

Eyasobeza ku Mukazi námutta agombedwamu obwala

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusajja ow’emyaka 31 mu disitulikiti y’e Iganga akwatiddwa poliisi ku by’okutta omukazi ow’emyaka 28 oluvannyuma lw’okumusobyako.

Omwogezi wa poliisi mu Bosga east Diana Nandawula agamba nti omukwate nga mutuuze ku kyalo Nkono mu Iganga northern Division era alumirizibwa okubba ebintu by’omugenzi.

kigambibwa nti omukwate yagenze mu maka ga Muky Hudah Nagujja n’amutugga oluvannyuma lw’okumutuusaako ogwobuliisa maanyi.

Agamba nti omulambo gwa Nagujja gwasangiddwa ku kitanda kye ng’ali bukunya.

Poliisi yakozeseza embwa ekonga olusu kwekugwa ku mutemu nga yasangiddwa ng’atudde mu bbaala ku kyalo kye kimu.

Aguddwako emisango omuli okusobya ku mukazi, okutta nóbubbi