Amawulire

Eyasiiga omwana ssiriimu avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

May 30th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusajja owemyaka 30 avunaniddwa noluvanyuma nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira olwokusiiga omwana owemyaka 4 akakwuka ka mukenenya.

Moses Sendagire asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu Jane Francis Abodo wabula emisango nagyegaana.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga 16th June mu 2015 ku kyalo Nabutiiti mu Kampala yasobya ku mwana ono atenga yali akimanyi bulungi nti mulwadde owomwera nju.

Kooti era ekitegeddeko nti Sendagire okuva mu June 2015 abadde ku alimanda, wabula tekirobedde mulamuzi kumuzaayo, nga wakudda nga 12th June.