Amawulire

Eyasanyukira okufa kwa Gen. Tumwine ayimbuddwa

Eyasanyukira okufa kwa Gen. Tumwine ayimbuddwa

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omukyala ow’emyaka 27 omuwagizi wekibiina kya National Unity Platform, avunaanibwa emisango egyekuusa ku kusanyukira okufa kwa Gen Elly Tumwine ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti.

Teddy Nalubowa alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Marion Mangeni, ku kkooti eyokuluguudo Buganda, amuwadde  okweyimirirwa ku kakalu ka ssente emitwalo 50 ate abamweyimiridde balagibwa okusasula obukadde 10.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga August 23rd 2022 bwe yali mu Ndeeba, Rubaga Division, Nalubowa nga talina kigendererwa kituufu kya kukozesa kompyuta, mu bugenderevu era enfunda eziwera yateeka akatambi ku mikutu gye egy’empuliziganya n’ekigendererwa eky’okutabangula emirembe gy’omuntu wa pulezidenti nga; nga bajaguza okufa kwa Gen Tumwine n’agattako nti ne Pulezidenti M7 agenda kufa mu bbanga ttono.

Wabula Nalubowa agamba nti tasobola kujjukira mawulire gonna ge yateeka ku mikutu gye egya tik-tok ne Facebook, kubanga yali atamidde omwenge.

Ono alagiddwa okudda mu kkooti nga November 2nd 2022 okwogera ku musango gwe.