Amawulire

Eyalya emmere mu woteeli n’agaana okusasulwa asimbiddwa mu Kaguli

Eyalya emmere mu woteeli n’agaana okusasulwa asimbiddwa mu Kaguli

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusajja owemyaka makumi 50 agambibwa okulya emmere n’ebyokunywa mu restaurant nagaana okusasula asimbiddwa mu mbuga z’amateeka.

Rwamukyo Joseph nga mutuuze we Kisasi wano mu Kampala asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall, Edgar Karakire amusomedde omusango nagwegaana.

Wabula amangu ddala oluvanyuma lwokwegaana omusango, omulamuzi amusindise ku alimanda mu kkomera e Luzira ajira yebakayo okumala sabiiti biri nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Oludda oluwaabi lugamba nga November 14th 2023 e Ntinda ku Romeo’s Restaurant yasaba emmere nebyokunywa nga bibalirirwamu ensimbi za Uganda 594,000shillings , wabula olwamala okulya n’okunywa nagaana okusasula.