Amawulire

Eyaliko omukulembeze wa Kenya, Mwai Kibaki afudde

Eyaliko omukulembeze wa Kenya, Mwai Kibaki afudde

Ivan Ssenabulya

April 22nd, 2022

No comments

Bya BBC

Eyaliko omuk weggwanga erya Kenya Mwai Kibaki mukama katonda amunyuludde mu bulamu bwensi eno

Okufakwe kulangiriddwa omuk weggwanga aliko kati Uhuru Kenyatta.

Kibaki yeyali omuk weggwanga erya Kenya owomulundi ogwokusatu oluvanyuma lwokufuna obwetwaze okuva eri abengereza mu 1963

Ono yafuga Kenya okuva mu mwaka gwa 2002 to 2012.

Omuk weggwanga erya aliko Uhuru Kenyatta alangiridde okukungubagira omugenzi okweggwanga lyonna okutuusa nga agalamididdwa munjuye eyoluberera.

Era alagidde bendera zeggwangwa okusibwa wansi