Amawulire

Eyaliko omubaka kate asule mu komera lwakuginga biwandiiko.

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Eyaliko omubaka wa palamenti ow’eBundibugyo Harrient Ntabazi  olwaleero asiimbiddwa mu kooti ya Buganda Road, navunanibwa emisango esatu egy’ekusa kukuginga ebiwandiiko.

Obujulizi obuleeteddwa oludda oluwabi nga lukulembedwamu kalisoliiso Wilberfoce Mutebule  bulaga nti  wakati wa December 2015 ne  October 2016, Ntabazi  mubugenderevu yakozesa ebiwandiiko ebya S.6  mu kakiiko k’ebyokulonda, nga agamba nti yabijja mu UNEB nga bino byonna yabikola ayagala kuvuganya kububaka bwa palamenti.

Wabula ye Ntabazi  yeeganye emisango gino  bwatyo omulamuzi n’amuwa akakalu ka bukadde 5  ezabuliwo.

Kati omulamuzi aguli mu mitambo Esther Nahirya  alagidde  omukyala ono okuwaayo  passport , nga omusango bwegutambula.