Amawulire

Eyali omubaka omukyala owa Jinja afudde.

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2018

No comments

Bya Steven Otage.

 

Amawulire g’etwalafuna galaga nga eyaliko omubaka omukyala owa Jinja district bwakedde okufanga entabwe evudde kukya oxygen kubula mu malwaliro.

Omukyala ono afiiride Jinja, nga ab’oluganda bwalwana okunoonya amalwaliro agayinza okubayamba okubawa oxygen.

Twogedeko ne muwala w’omugenzi nga ono ye Sylvia Kyansuti  n’agamba nti omukyala ono yalumbiddwa ekirwadde kya pulesa  mu budde obw’ekiro  nebamudusa mu dwaliro ekulu ely’e Jinja nga teri oxygen , kwekusalawo okugenda ku Rippon Medical Centre, ate yo baasanye alina ekisumuluzo kyekisenge omuli oxygen nga yasuze mafubira

Bwebalabye nga embeera etabuse kwekuduka nebagenda mu dwaliro elya Almeca Clinic  e Mafubira , kyoka bano nebagaana okumuwa ekitanda, – mukugezaako okugendda ku  International Hospital e,Masese  omukadde ono nakutuka.

Omukyala ono yakiikirira ekitundu kino wakati wa 1996 ne 2001.