Amawulire

Eyali omubaka Kipoi avunanibwa kweyita musawo wa’kinansi

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2018

No comments

Bya Isaac Mufumba

Eyali omubaka wa Bubulo West Tony Kipoi Nsubuga avunanibwa misango gya bufere, ngabadde yeyita musawo wa kinansi.

Ono olwaleero atekeddwa okulabikako mu kooti mu gwanga lya Botswana mu kikuba ekikulu Gaborone okusomerwa emisango 4 egyekuusa ku kufuna ensimbi mu lukujjukujju.

Kipoi kitegezeddwa nti yakwatibwa mu wiiki esooka eya February nga kigambibwa nti aliko emitwalo 3 egya dollar gyeyaferea wakati wa May 2017 ne January nga 20 omwaka guno.

Okusinziira ku lupapula lwa Voice newspaper, mu gwanga lya Botswana Kipoi ono eyabuuka okweyimirirrwa mu Uganda ku misango gyokulya mu nsi olukwe nobubbi, yatuuka eno ku mawanga nafera nga bwalina amanyi agenjawulo agagaba emirimu nobufumbo.

Ono era abaddenga agamba abantu nga bwalina zzi waleeti ezigaba obugagga nokukubisaamu ensimbi.

Kati okusinziira ku mateeka agekibonererzo mu gwanga lya Botswana omuntu asingisibwa omusango guno, asibibwa emyaka 7.