Amawulire

Eyali amyuka CAO wé Kagadi asingisiddwa ogwóbulyake

Eyali amyuka CAO wé Kagadi asingisiddwa ogwóbulyake

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Eyali amyuka akulira enzirukanya y’emirimu mu gavumenti ez’ebitundu mu disitulikiti y’e Kagadi, Fredrick Balemeezi asingiddwa omusango gw’okukozesa obubi ofiisi era n’asalirwa engassi ya ssente 3,360,000.

Omulamuzi wa kkooti erwanyisa enguzi Lawrence Gidudu era amugaanye okubeera mu ofiisi za gavumenti okumala bbanga lya emyaka kkumi.

kino kiddiridde Balemeezi okukola endagaano y’okwewozaako ne Gavumenti ekiikiriddwa Ssaabawolereza wa Gavumenti James Khaukha, era n’asingisibwa omusango okusinziira ku bigambo ebiri mu ndagaano.

Balemeezi yavunaaniddwa wamu ne Godfrey Musinguzi akulira abakozi mu Kagadi ne Bartholomew Bukenya akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Kagadi wabula emisango ye agyegaanye.

Kigambibwa nti Balemeezi mu mwaka gwa 2019 bweyali ku kitebe kya Gavumenti ez’ebitundu e Kagadi mu Disitulikiti y’e Kagadi, nga omumyuka w’akulira enzirukanya y’emirimu, yakozesa obubi obuyinza bwe yalonda abakozi 60 ng’abakozi ba Gavumenti ez’ebitundu mu Disitulikiti y’e Kagadi nga tagoberedde enkola ezeetaagisa okuwandiika abakozi ba Gavumenti.