Amawulire

Eyakwata Muwalawe owémyezi 3 asindikibwa mu kkoti enkulu

Eyakwata Muwalawe owémyezi 3 asindikibwa mu kkoti enkulu

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssabawaabi wa gavumenti alagidde omusango gwa taata eyasobya ku bujje eryemyezi 3 lyazaala gutandike okuwulirwa mu kkooti enkulu

Zaidi Kanonko bwalabiseko mu kkooti e Mukono omulamuzi Steven Waidhuba amutegezeza nti omusango gwe gulina kuwulirwa mu kkooti enkulu.

Oludda oluwaabi lugamba omuwawabirwa omusango yaguza ngennaku zomwezi September 19th 2020 kukyalo Geregere ekisangibwa mu disitulikiti eye Buikwe.

Bino byonna byaliwo oluvanyuma lwa maama okulekela taata omwana agende mu katale okugula emmere.

Yagenda okukomawo oluvanyuma lweddakiika 20 nga taata womwana ayambudde omwana nga naye ali mu mpale enyimpi agalamidde ku mwana wabwe owemyezi 3

Oluvanyuma maama yaddusa omwana mu ddwaliro ne bamwekebejja ne bakamutema nti asobezedwako nga afunye ne biwundu ebyamaanyi.