Amawulire

Eyakubwa amasasi awaabye

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Kaihura again

Omukazi agambiba okukubwa amasasi poliisi mu 2002 akubye gavumenti mu mbuga z’amateeka nga ayagala aliyirirwe obyukadde 50.

Rebecca Kajaaka Adyeri agamba nti nga  14th June 2002, bwyali mu wooteri ke wali ku  Luwum Street, abasirikale ba poliisi abaali bagoba ababbi bamukuba amasasi mu butanwa.

Omukyaala ono mu mpaaba ye eri kooti enkulu yategeezezza nga bweyali mu koma mu ddwaliro ekkulu e Mulago okumala emyeezi 5, ekyadirira kufiirwa bizineesi ye, omubiri gwona gwasanyalala nga kati atambulira mu kagaali k’abalema.

Omuwandiisi wa kooti enkulu  Charles Emuria gavumenti agiwadde annaku 15 zokka okwewozaako.