Amawulire

Eyajingirira obuyigirize nafuna omulimu waakukwatibwa

Eyajingirira obuyigirize nafuna omulimu waakukwatibwa

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Akulira ebyobusubuzi ku disitulikiti ye Kaliro oba Commercial Officer Christopher Muwanika ali mu kattu omulimu gwandimuyita mu myagaanya gyengalo, olwempapula ze ezobuyigirize ezibusibwa.

Kalisoliiso wa gavumenti alagidde poliisi e Kaliro okukwata Muwanika era anonyerezebweko.

Kalisoliso wa gavumenti agamba nti onoi yajingirira empapula zobuyigirize nalaga nga bwalina degree okuva e Makerere gyeyakozesa okusaba omulimu gwa gavumenti guno mu mwaka gwa 2016.

Wabula omuwandiisi wettendekero lye Makerere yegaana Muwanika nti tebamuwangako degree gyayogerako.

Mu bbaluwa gyetulabyeko, eyatekebwako omukono abadde kalisoliso Mariam Wangadya yalagira okukwatibwa kwa Muwanika.