Amawulire

Eyaguze omukazi n’atamumatiza abadde amutta

Eyaguze omukazi n’atamumatiza abadde amutta

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi mu Kironde zooni mu Ndeeba eriko musajja gwekutte ategerekesse nga Sulaiman Katongole ku misango gyokugezaako okutuga omuwala.

Ono okuva mu mbeera kigambibwa nti yasoose kuwa omuwala ono emitwalo 2 besanyusseemu wabula baabadde baakatandika omuwala neyecanga ng’agamba nti ssente ze ziweddeyo.

Katongole agamba kino kyamunyiziizza n’akwata omuwala ku mpaka okumalayo, okusobola okumalayo ssente ze, ng’agamba nti tayinza kukkiriza kumubba ngalaba.

Akulira poliisi y’omu kitundu kino Justus Bwire agambye nti guno ssi gwemulundi ogusoose okuwawabira Katongole, mu mbeera yeemu, nga waliiwo abakazi banji abazze baamulumiriza okugezaako okubatta.