Amawulire

Eyafunira akabenje ku mulimu ali mu mbeera mbi

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omuvubuuka awanjagidde ebitongole ebirwanirira eddembe lya’bakozi ne ministry yensonga zabakozi okumuddukirira oluvanyuma lwokufunira akabenje ku mulimu.

Geofrey Musiitwa owemyaka 21 nga mutuuze ku kyalo Upper Kauga e Mukono agamba yali mukozi mu kampuni ya Biyinzika Poultry International e Ntenjeru wabula ki tractor kyamutomera nafuuna obuvune mu kifuuba bwebali ku faamu nga 21 Niovemba wa 2017 wabula tayambiddwa bakama be.

Ono agamba bumujanjabirako ku ddwaliro lya Mukono International Hospital naye nebamujja ku bujanjabi nga tanawona.

Wabula akulira abakozi mu kampuni eno Judith Nsamba tugezezako okumufuna, okubaako kyatagaaza nekitasoboka.