Amawulire

Eyafuka ku kkubo bamusingisizza omusango

Eyafuka ku kkubo bamusingisizza omusango

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Waliwo omusajja owemyaka 18 gwebawadde ekibonerezo kya nnaku 11 mu kkomera e Luzira, oluvanyuma lw’okumusingisa omusango gwokufuyisa mu bantu.

Derrick Mudde nga mutuuze ku Market Street mu Kampala yasimbiddwa mu maaso gomulamuzi we ddala erisooka, mu kooti yekibuga etuula ku City Hall Valerian Tuhimbise wabula nakirza omusango.

Wabula ate Mudde ayimbuddwa, oluvanyuma lwokuba nti ekibonerezo ekimuwereddwa ze nnaku zaabadde amaze ku alimanda okuva nga 9 August 2019, lweyakwatibwa.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa baamusanga ku Entebbe Road mu masekati ga Kampala, nga yefudde ekitagasa atairiisa ku mabbali ge kkubo.