Amawulire
Eyabadde yewambye bamusanze wa muganzi we
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi mu district ye Kabale eriko omukazi owemyaka 22 gwekutte nga kigambibwa nti yabadde yewamby, okusobola okujja ssente mubenganda.
Susan Katushabe nga mukozi mu kitongole kyamazzi ekya National water and sewerage corporation ettabi erye Kabale kati akumibwa ku poliisi ye Rukiga oluvanyuma lwokumulundoola nebamuzuula ni abeddenga yekukumye ewa muganzi we Obadia Twinomuhwezi omusomi wamwulire ku radio y’omukitundu.
Okusinziira ku poliisi Susan omukyala ono abaddenga agamba nti baamuwamba, okuva mu kibuga e Kabale mu mmotoka enzirugavu kika kya saloon nebasaba omusingo gwa bukadde 4 n’ekitundu.
Kati nomulenzi yakwatiddwa awamu bayembeko poliisi mu kunonyereza.