Amawulire

Express FC ewanduse okuva mu CAF Champions League

Express FC ewanduse okuva mu CAF Champions League

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Express FC ababadde bakiridde Uganda, bawanduddwa okuva mu mpaka za CAF Champions League.

El Merrick ye Sudan bebajje Express mu mpaka zino, ku mutendera ogusooka.

Kati El Merrick bayiseewo ne goolo 2-2 omugatte, nga bayitiddewo ku tteeka lyokuba nti abateeka ku bugenzyi mu mupiira ogwali e Kitende.

Mungeri yeemu URA FC bayiseewo okugenda ku mutendera oguddako mu mpaka za CAF Confederations Cup bwebawangudde Coffee 3-1, omupiira ogubadde mu gwanga lya Ethiopia.

URA bayitiddewo ku mugatte ku goolo omugatte 5-2.