Amawulire

Ettendekero lyé Makerere lyetaaga obuwumbi 105 okudabiriza ebizimbe

Ettendekero lyé Makerere lyetaaga obuwumbi 105 okudabiriza ebizimbe

Ivan Ssenabulya

January 31st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Yunivasite y’e Makerere enoonya ssente obuwumbi 105 okuddaabiriza ebizimbe ebisuulwamu n’okussaamu ebikozesebwa mu laboratory za sayansi.

Bino biri mu lupapula lw’embalirira y’eggwanga eyómwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 eyayanjuddwa mu akakiiko ka palamenti akakola ku byémbalirira.

Bwabadde ayanjula embalirira yabwe mu kakiiko Ignatius Mudimi (Elgon County) yategeezezza nti Yunivasite za Gavumenti ezimu zikyalwanagana n’ensonga y’ebizimbe ebyonoonese naddala nga Makerere Yunivasite eteeka obulamu bw’abayizi mu matigga.

Gavumenti yawaddeyo 17Bn mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja okukola emirimu gy’okuddaabiriza ekisulo kya Lumumba ne Mary Stuart, wabula zino tekimala.

Mudimi yategeezezza Palamenti nti Yunivasite yeetaaga ssente endala obuwumbi 52 okuddaabiriza amasomero g’obusawo n’ebisenge ebirala 10 n’okuzimba n’okussaamu ebikozesebwa mu laboratory eri abo abakola amasomo ga sayansi.