Amawulire

Etteeka ku Tuku-Tuku mu Kampala Lijja

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago, ategezezza nti bagenda kuvaayo ne tteeka erinarungamya ebyentambula eyemipiira 3 nga bu pikipki obwakazibwako erya Tuku Tuku.

Bwabadde ayogerako naffe, Lukwago yakutunulira ebyentambula mu kibuga, engeri gyebirina okukwatibwamu.

Mungeri yeemu Lukwago alabudde nti okulwanyisa Boda Boda okuzimala mu Kampala kyanndiba ekyobulabe naddala mu kaseera kano ngabasinga ku bagoba ba Boda Boda bebabuka.

Ategezezza nti bu pikipiki nga buno, ntambula nnungi kalenga yetaaga kutereeza butereeza.