Amawulire

Etteeka ku bukubano mu maka ligaanye

Ali Mivule

March 24th, 2014

No comments

Domecstice volect

Abalina okussa mu nkola etteeka ku bukubagano mu maka bibasobedde

Kino kivudde ku nsonga nti gavumenti teyassaawo nsimbi zakussa mu nkola tteeka lino yadde lyayita

Ebibiina ebirwanirira eddembe lya bakyala wanow ebisinzidde bebisaba gavumenti okussaawo ensimbi ezinayamba okussa mu nkola etteeka bweriba nga lyakuvaamu akalamu

Omu ku bakungu mu kibiina kya CEDOVIP nga kino kirwanyisa bukubagano mu maka agamba nti minisitule ekola ku kikula ky’abantu erina okwongera amaanyi mu kusaba nti eweebwe ensimbi kubanga kuno kuba kwooza n’oyanika mu ttaka

ALipoota eyakolebwa mu mwaka 2011 eraga nti abakyala ebitundu 56 ku kikumi batulugunyizibwa nga bano bali wakati w’emyaka 15 ne 49