Amawulire

Essigga eddamuzi likungubagidde omulamuzi Kikonyogo

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabalamuzi we gwanga Bart Katureebe akungubagidde omulamuzi, omugenzi Leticia Mukasa Kikonyogo, ngategezeza nti kya nnaku kubanga afudde tanafuna kasiimo ke, olwemyaka 39 gyeyamala ngawereza ekitongole ekiramuzi.

Omugenzi mukama yamujjulula okuva mu bulamu bwensi ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde oluvanyuma lwokugwirwa ekimbe ekyomuima ekyamangu.

Ssabalamuzib ajjukizza gavumenti okutukiriza obweyamu bwayo eri abalamuzi nabakozi bekitongole.

Omugenzi amwogeddeko ngabadde maama, omusomesa gyebali esaawa yonna webebddenga bamwetagira.

Ategezeza nti era abadde ayagala abakyala nokufaayo ku nsonga zabaana.

Omulamuzi, omugenzi Letitia Mukasa Kikonyogo okumala emyaka 39, yawerezza mu ssiga eddamuzi ymu biffo ebyenjawulo.

Olwaleero omubiri gw’omugenzi guleteddwa ku kooti enkulu mu Kampala, okukubwako eriisio evanyuma.

Ono yemulamuzi yekka asoose okufa naleetebwa mu kooti eno.

Omubiri gwomugenzi gwakutwalibwa ku palament, olunnaku olwenkya waberewo okusabira omugenzi ku Lutiko e Lubaga ate okuziika kuberewo ku Lw’omukaaga lwa wiiki eno, ku bijja byabajajaabe e Namulanda mu district ye Mityana.