Amawulire

Essiga eddamuzi lyewozezzaako ku misaala gy’abakozi

Essiga eddamuzi lyewozezzaako ku misaala gy’abakozi

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Essiga eddamuzi livuddeyo nelyewozaako ku makubo gelikutte okulaba nga gasitula ku nyingiza y’abakozi baalyo naddala abo ku mitendera egyawansi nga ne ba dereeva mwobatwalidde.

Kiddiridde akatambi ka driver wabwe akalabikide ku itimbagano nga yemulugunya ku sente entono zafunang’omusaala zeyagambye nti tezimusaanira.

Mu katambi kekamu, Stanley Kisambira era awulikika nga ayogera nga n’ensako bwekyali enetono nnyo ekibaviirako okukolera mu bugubi.

Kati mu kiwandiiko ekitereddwako enaku z’omweezi 14/05, essiga eddamuzi lilaga nti wadde omusaala abantu bano abamu gwebafuna mutono, obukulembeze buliko enkola gyebwangujaawo ey’okuwa ensako abakozi bonna abatali balamuzi nga ne ba dereeva mwobatwalidde okulaba nga bongera ku nsimbi zebafuna ku nkomelero y’omweezi.

Essiga eddamuzi era litegeezezza nga enkola eno era bwetandise okuvaamu ebibala nga kati dereeva ku nkomelero y’omwezi afuna sente ezitakka wansi w’akakadde ate nga kuno tebagatiddeko nsako wamu n’ezo ezikola emilimu.

Bino webigwiriddewo nga waliwo okukubaganya ebilowoozo mu banna Uganda ku ngeri abakozi bawansi mu bitongole bya gavumenti gyebasasurwamu nga kiviirideko n’abamtu okutandika okwekyanga nebatabdika n’okutuusa obulabe ku bakama bawe.