Amawulire

Entekateeka zémikolo gyámatikira gómutanda aga 28 ziri mu giya

Entekateeka zémikolo gyámatikira gómutanda aga 28 ziri mu giya

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2021

No comments

Bya Magembe Ssabiiti

Amyuka luweekula asooka mu Sazza ly’e Buwekula mu disitulikiti ye Mubende Owek Andrew Mukasa Ssempijja asabye abantu ba Kabaka e Buwekula okwenyigira mu mikolo gy’o’kuza amatikira ga Ssabasajja Kabaka agalibaawo nga 31st Omwezi guno mu Lubiri e Nkoni mu Buddu.

Owek Ssempijja asabye abaami ba Kabaka mu ggombolola ez’enjawulo mu Buweekula okutegeka mayiro ya Bulungibwansi nga ku mulundi guno essira bagenda kuliteeka nnyo ku butonde bw’ensi e Buwekula  nga bagenda kusimba emiti.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’essaza e Kaweri ategeezezza nti Buwekula  ku myaka 28 egya Ssabasajja nga atudde ku Nnamulondo essaza lisajjakudde omubadde n’okufuna ettabi lya Ssettendekero wa Muteesa I Roayal University.