Amawulire

Entekateeka z’emikolo gya Jubireewo zifulumye

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

File Photo: Mayega nga yogera

Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza entekanteeka za jubileewo entongole.

Bwabadde ayanja enteekanteka zino Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza bwewaliwo omukulembeze ow’enono okuva Ghana agenda okubaawo ngomugenyi, nga ono wakutuuka kuno nga 29.

Ngennaku zomwezi 21 obusiki bwamatikira bugenda kutandika ku mbuga z’amasaza zonna, nga 24 ssabasajja wakukwasiibwa Twekoobe, nga 26 Katikkiro wakutongonza amazzi ga Buganda agatuumidwa olwendo, nga 27 kabaka wakuggulawo ekizimbe Namulondo atenga 28 Katikkiro wakuyingira Buttikkiro mu butongole.

Nga 31 geganda okubera amatikira, wabulanga 13 ogw’omunaana Ssabasajja wakuggulawo olukiiko lwabuganda olwomwaka guno.

Kati Katikiro asabye abantu ba Buganda okubeerawo mu bugji ku mikolo gino gyonna.