Amawulire

Entekateeka Z’amattikira ga’ Kabaka

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2017

No comments

Bya Magembe Ssabiiti

Entekateeka z’okuza amatikira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 24 mu Ssazza lye Buwekula e Mubende omwezi guno zeyongedemu ebbugumu ngebiyitirirwa bitandise  okuzimbibwa.

Ssentebe w’olukiiko olutesiteesi mu Ssazza lino Tonny Ssemmuli ngera ye mubaka wa munispaali eye Mubende ategezeezza ngomulimu gw’okumaliriza enyumba bwegugenda okujibwako engalo.

Omwami owe Ssaza Luwekula Imaculate Nantaayi asabye abantu ba ssabasajja okwongera okuwaayo ebikozesebwa omuli Emuli nensimbi enkalu okuzimba ebiyitirirwa okusobola  okwaniriza  obulungi  omutanda.

Ssabasajja wakutuuka mu Ssazza lye erye Buwekula ngennaku zomwezi 30 omwezi  guno aggalewo
olusisira lw’eby’obulamu nga 31 ngamatikira ge gyeganakwatibwa.