Amawulire

Enteekateeka zitandise okufuna Omulabirizi w’e Luwero

Enteekateeka zitandise okufuna Omulabirizi w’e Luwero

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Olukiiko lw’abalabirizi b’ekkanisa ya Uganda lutandise okufuna abegwanyiza abapya ekifo kyómulabirizi wobulabirizi bwé Luwero mu kulonda okusuubirwa okubaawo nga August 1st 2023.

Kino kikakasiddwa omuwandiisi wé kkanisa ya Uganda, Rev. Canon William Ongeng, olukiiko lw’abalabirizi lwasazizzaamu okulondebwa kwa Rev. Canon Godfrey Kasana, ngómulabirizi ow’okuna mu bulabirizi bw’e Luwero.

Abakulondako bajja kufunibwa okuva mu lukiiko lw’obulabirizi olusunsulamu amaanya gaabwe mu mwezi ogujja.

Kino kyasaliddwawo mu lukiiko lwabwe olwatuula nga 28th June e Hoima.

Rev Ogeng agamba nti okusalawo kuno okw’ekitalo kwakoleddwa kubanga amawulire ag’esigika gaafunibwa nti obwesimbu bw’omulabirizi omulonde Kasana tebwaliwo songa abakrisitaayo e Luwero era beemulugunya eri ssaabalabirizi Kaziimba nti omuntu gwe bagala okubawa yali mwezi nyo ekiswaza e Kanisa.

Okutukuza n’okutuuzibwa kw’omulabirizi ow’okuna e Luwero kati kugenda kubeerawo ku Ssande nga 6th August 2023, mu Lutikko ya St. Mark’s Cathedral, Luwero.