Amawulire

Ensimbi za SACCO ezaali zabbibbwa zizuuse

Ensimbi za SACCO ezaali zabbibbwa zizuuse

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2023

No comments

Bya Elly Katahinga

Obukulembeze bwa disitulikiti y’e Ntungamo buzudde obukadde bwa ssente 8 ezaali zibbiddwa mu kibiina kya sacco ki Rukarango-Kibatsi Parish Development Model Sacco.

Ssente zino zaali zibbiddwa akulira eby’obusuubuzi mu disitulikiti Niwagaba Seth n’akulira enkulaakulana y’abantu mu Kibatsi Arinaitwe Isaac kati abakwate.

Disitulikiti y’e Ntungamo yatondawo Sacco 129 okuganyulwa mu nsimbi za PDM era yafuna obukadde bwa sh745 olw’enteekateeka eno mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde.

Okusinzira ku Ambrose Tusiime, akulira enkulaakulana y’abantu mu disitulikiti, ababiri bano beekobaana okutondawo bamemba abempewo ne bafuna ensimbi zebataalina kufuna.

Amyuka omukwanaganya wa PDM mu Ggwanga Joveline Kyomukama Kariisa addizza bammemba ba sacco ensimbi ezaazuulibwa

Enkola ya Parish Development Model nteekateeka ya gavumenti elubirira okugya bannauganda mu bwavu okuyita mu kutondawo emirimu egivaamu ensimbi.