Amawulire

Ensimbi za PDM zitabudde abatuuze e Mukono

Ensimbi za PDM zitabudde abatuuze e Mukono

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2023

No comments

Bya Kiguli Diphas,

Ba ssentebe b’emiruuka okuva mu kibuuga Mukono balajanidde gavumenti okwanguyirizako enteekateeka zaayo okusobozesa abantu abalina okuganyulwa munteekateeka ya Parish Development Model okutandiika okufuna ensimbi zaabwe.

Bano bagamba nti bbo ogwabwe bagukola mu budde okusomesa abantu kunkozesa yensimbi zino basobole okwejja mu bwavu.

Bagamba ku bukadde  ekikuumi ez’asuubizibwa bakafunako million 25 zokka newankubadde nga basigaza banga ttono okumalako omwaka gw’eby’ensimbi.

Jim Kato nga ye ssentebe w’omuluka gwa Ntawo ward mu kibuuga Mukono agamba nti okukandaliriza ensimbi zino ku account ng’abantu tebazifuna kibavumiza byansuuso abantu ba bulijjo n’okubalangira nga bwebalya ssente zino ekintu ekitali kituufu.

Wabula munne Steven Kiggundu nga ye ssentebe wa Namumira-Anthony ward agamba nti n’okukyuusa emitendera egigobererwa okufuna ensimbi zino buli kaseera nakyo kilemeseza abantu okutandika okufuna ensimbi zino.