Amawulire

Ennongosereza zeetaagibwa Omubaka alemenga kulondebwa kubwa Minisita

Ennongosereza zeetaagibwa Omubaka alemenga kulondebwa kubwa Minisita

Ivan Ssenabulya

June 12th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omubaka wa Bukanga North mu palamenti Nathan Byanyima ayagala wabeewo ennongoosereza mu mateeka gómubaka mu lukiiko lweggwanga olukulu takkirizibwa kulondebwa kubwa minisita.

Mu kiseera kino amateeka ga Uganda gakkiriza omukulembeze weggwanga okulonda omubaka wa palamenti kubwa minisita.

Okusinziira ku Byanyima eno yenkola yokka egenda okulaba ng’obuweereza butuuka mu bantu mu kiseera ng’oludda oluvuganya gavumenti okusaba wabeewo ennongosereza mu ssemateeka ne mu mateeka gébyokulonda.

Byanyima agamba nti okwegatta kw’ekitongole kya palamenti n’ekitongole kigootanyiza ebyempereza.

Okusinziira ku palamenti, omubaka wa palamenti ye mubaka w’abalonzi mu by’obufuzi mu palamenti ate nga Minisita ye munnabyabufuzi alina ofiisi y’olukale enkulu mu gavumenti y’eggwanga oba ey’ebitundu.