Amawulire

Ennamula yomusango we kkomo ku myaka eruddewo

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Omubaka we gwanga lya Germany mu Uganda yemulugunyizza ku nnamula yomusango ogwawaabwa, oguwakanya okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga eruddewo.

Olwaleero ababaka bamawanga 15 abenjawulo basisinknaye lu palamenti okwogera ku nsonga ezenjawulo ngenfuga eyamateeka nebiralala.

Eno omubaka wa Germany kuno, H.E. Dr. Albert Conze agamabye nti okuva omusango guno lwegwatandika okuwlirwa nga April 4th 2018 ennaku 60 ziyiseewo ngennamula bann-Uganda bajirinda tejja.

Ono agambye nti waliwo okutya okwanayi mu bantu nobunkenke ku nsonga eno.

Wabula mu kwanukula omukubiriza wa palament Rebecca Kadaga gambye nti gino mirimu gya ssiga eddamu, kalenga abadde tayinza kubaako kyajogerako.

Bino webijidde nga ssabalamuzi we gwanga Bert Katurebe olunnaku lwe ggulo yasinzidde Buhweju nategeeza nti okulwawo kuvudde ku balamuzi abajwulo abawulira omusango guno, kubanga buli omu alina okukola ennamula ye, olwo baveeyo nekyawamu.