Amawulire

Enkyukakyuka mu poliisi-Kaweesi azze mu bikwekweto

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Kaweesi 2

Ab’oludda oluvuganya gavumenti tebalina ssuubi mu nkyuukakyuuka za poliisi ezaakoleddwa akawungezi akayise.

Olunaku olw’eggulo ssabapoliisi w’eggwanga yakyuusizza abaserikale abenjawulo nga kati abadde aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi y’akulira ebikwekweto byonna nga Haruna Isabirye yeyazze mu kifo kye.

Kati Grace Turyagumanawe abadde akulira ebikwekweto yasindikiddwa kukulira bikwekweto mu poliisi ya East Africa.

Minisita w’ebyokwerinda mu gavumenti y’ekisiikirize  Hasan kaps fungalo agamba yadde nga enkyukakyuka yeetagisa, abasinga ku baakyuusiddwa bwiino waabwe ssimuwo omu ku by’okulinyirira eddembe ly’obuntu.

Agamba poliisi yetaaga kukyuusa mu neeyisa yonna sso ssi kukyuusaaako baserikale bamunabamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *