Amawulire

Enkuba esse omu mu bitundu by’e Mbale

Enkuba esse omu mu bitundu by’e Mbale

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Ekitongole kidduukirize ki Uganda Redcross nga kikolaganira wamu ne Poliisi gattako abakulembeze b’ebyaalo mu bitundu eby’e Mbale, baliko omulambo gw’omusajja gwebazudde nga gwakulugusiddwa namutikwa w’enkuba eyafudembye ekiro ekikeesezza leero mu bitundu ebyo.

Kigambibwa nti bino bibadde ku kyaalo Nambiti B, mu muluka gw’e Bushikori mu gombolola y’e Bungokho mu district ey’e Mbale nga n’ebitundu ebilala bingi ebyetoloddewo bisigadde biri mu mataba.

Irene Nakasiita ayogerera ekitongole kya Recross atubuulidde nti basajja baabwe bakyaliyo mu kitundu ekyo okwongera okwetegereza embeera mu namutikwa w’enkuba ono ayongera okunyinyitira mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.