Amawulire

Enkuba esanyizaawo amayumba 10 e Masaka

Enkuba esanyizaawo amayumba 10 e Masaka

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Abatuuze be Kyanamukaka e Masaka basigadde bafumbya miyagi, enkuba namutilkwa bwesanyizaawo amayumba nebirime byabwe ebiweako.

Abaantu abasinze okukosebwa bali ku byalo Nakitaraka, Kyengerere, ne Buyinja mu gombolola ye Kyanamukaka ngeno amayumba 10 nekkanisa bisgudde ku ttaka.

Harman Lukyamuzi omukulembeze ku kkanisa ya Nakitaraka victory church agambye nti embuyaga etikuddeko akasolya kekanisa.

Kati abatuuze bali mu kutya nti bandigwamu enjala kubanga emmere yonna gyebabadde baaalima enkuba nembuyaga ejigoyezza.

Ssentebbe wa disitulikiti ye Masaka Joseph Lukyamuzi Batemyeto agambye nti bagenda kusindika abakugu okwekenneenya embeera mu bitundu ebikosesswa, oluvanyua bakole alaipoota eri gavumenti okubatusiza obuyambi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *