Amawulire
Enkola eyókuyunga abantu ku masanyalaze etukiziddwa
Bya Benjamin Jumbe,
Olukiiko lwa baminisita luyisiza ekiteeso ekyokuyunga bannauganda ku masanyalaze
Gavumenti mu 2020 yayimiriza enkola eyokuyunga bakasitoma ku masanyalaze oluvanyuma lwokusasula 20,000 egyokulambula ate gavt ne kola ku bisale ebyokuyunga oba kiyite connection fees.
Enkola eno yali yatandika mu mwaka gwa 2018 ngeddukanyizibwa aba Rural Electrification Agency ne kigendererwa ekyokuyunga bannauganda 300,000 ku masanyalaze wabula yayimirizibwa aba UMEME bwebateegeeza nti tewaali nsimbi kugusa nkola eno
Wabula mu ntevu womwaka oguwedde gavt yatukiza enkola eno bweyategeeza nti kati bakasitoma basobola okwesasulira ebisale byonna
Mu kwogerako ne bannamawulire ku yafeesi ye minisita avunanyizibwa ku byamawulire Judith Nabakooba,agambye nti enkola eno etandika nga 8th March 2021