Amawulire

Enjuki zirumye abaziisi

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Sadati Mbogo

Wabaddewo katemba atali musasulire ku kyalo Buwere mu gombolola y’e Buwama mu district y’e Mpigi oluvanyuma lw’enjuki okukyankalanya amazika ga Ssalongo Mutumba Johnson eyafudde, gyebwavuddeko.

Kigambibwa nti enjuki okutandika okulumaaluma abakungubazi kivudde ku bekika okunyooma n’okuvvoola ekiraamo kyomugenzi eyali yategeeza nti bw’afanga, bamuziike wansi w’omuti ogulimu omuzinga gw’enjuki zeyayogerako nti zeezimukuumye ebbanga lyamaze nga mulamu.

Abakungubazi abamu bannyonnyodde nti enjuki zivudde ku kuvvoola byabuwangwa, okuziika Ssalongo ng’enjuba tennagwayo.