Amawulire

Enjuki zigobye abatuuze ku kyalo

Enjuki zigobye abatuuze ku kyalo

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abatuuze ku kyalo Nkumire mu gombolola ye Malongo e Mayuge, bategeudde ekyalo, nebanoonya awalala webayinza okwewogoma oluvanyum lwenjuki okubazinda.

Kyadiridde enjuki zino okulumba omwana owemyaka 2 nezimuluma, wetwogerera ali mu ddwaliro.

Ssentebbe wekyalo Patrick Isabirye agambye nti enjuki zaatandikidde mu maka ga Ali Muyita era neziruma omwana we omuto owobuwala.

Isabirye agambye nti omwana yabadde wansi womuti gwomuyemba, nga zibadde ziva nnyumba ku nnyumba.