Amawulire

Enguzi esusse

Ali Mivule

October 21st, 2013

No comments

Corruption

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ekya Human Right Watch eraga nti gavumenti esuddeyo gw annaggamba okulwanyisa enguzi

Alipoota esonze ku banene mu gavumenti abeezibika ensimbi z’omuwi w’omusolo naye nebasigala nga balya butaala

Alipoota eno efulumiziddwa ku mulamwa ogugamba nti okukwata abatono bokka tekimala kulwanyisa nguzi

Awansinze okusongebwa ye ofiisi ya ssabaminista awagambibw aokuba nti waliwo okubwebwebana ensimbi naye nga byakoma awo tewali munene yakwatibwaako.

Oku ku bakulembeddemu okunonyereza, Maria Burnet agamba nti kitandikira ddala waggulu ng’abakulembeze balemereddwa okulwanyisa enguzi eno.

Okunonyereza kuno kwakoleddwa okuva mu mwezi gw’okutaano okutuuka mu gw’omwenda omwaka guno

Wabula yye minister akola ku mpisa n’obuntu bulamu Fr Simon Lokodo bino byonna abiwakanyizza ng’agamba nti tebirina kwebyesigamye

Ate yye ekyewunyisa nti omusangoa gusalidde kitongole ekiramuzi ky’agamba nti tekikoze kimala kulwanyisa nguzi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *