Amawulire

Enguzi eremedde mu ggwanga lwa bakulembeze-Beti Kamya

Enguzi eremedde mu ggwanga lwa bakulembeze-Beti Kamya

Ivan Ssenabulya

April 22nd, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Kaliisoliiso wa Gavt Beti Kamya ategezeza nga bwekikyali ekizibu okulwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga kuba abalina okugilwanyisa ate bebasinga okugirya.

Ono agamba nti yadde nga gavt etademu amaanyi okulwanyisa obulyake okuyita mu kutondawo ebitongole ebye njawulo okuli Poliisi, yafeesi ya kaliisoliiso wa gavt, akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka gomuk weggwanga ne birala obulyake bukyalemedde mu ggwanga lino kuba abalina okuba ekyokulabirako bagiwomerwa okufa.

Ono asabye abantu ssekinoomu ne bitongole okuli palamenti, ekiramuzi nabakozi ba gavt okukwatira awamu okumalawo omuze guno mu Uganda.