Amawulire

Enguumi kate enyooke ku KCCA.

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

 

 

Ebikonde kate binyooke  wano mu kisenge  bakansala ba KCCA mwebatesereza, nga kino kidiridde abakulu okuva  kiwayi eky’ebyekikugu okwagala okuva mu lukiiko luno bakansala nebabagaana.

Embeera okutaama kidiridde akola ku by’amateeka Omara Charles okutegeeza bakansala nti abakola ku by’ekikugu bonna balina okufuluma kubanga minister Betty Kamya abagambye nti ebigenda mu maaso ye tabimanyi , era nga byebagenda okukaanyako byona agenda kubisazaamu.

Kati kino kibagudde bakansala abakambwe okugalawo enzigi  nga bagamba nti abakulu bano bajja kubeera mu lukiiko luno lwampaka

Mukusooka omuloodi wa Kampala yasoose kulaga bakansala bano baluwa eyawandiikibwa minister Bety Kamya nga  23rd January 2018 , nga agamba nti tanamanya makulu ga nkiiko zino, kale nga bagwana bagire nga basigala ewaka okutuusa nga ategedde bano buli kwebatuula kkyebaba bagezaako okukola.

Kati Lukwago agamba nti omukyala kamya ono yandiba nga aliko kyafumba, wabula tebagenda kumukiriza

Agavaayo galaga nga omuloodi olukiiko luno bwaluyimiriza okutuusa ku Monday  nga 29th .