Amawulire

‘Endaga Muntu’ bakifudde kyetaago eri abasomesa

‘Endaga Muntu’ bakifudde kyetaago eri abasomesa

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Akakiiko akavunanyizbwa ku kugaba emirimu mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo aka Education Service Commission (ESC) kalambise nti endaga muntu oba National ID kyekimu ku byetaago 17 byebatunuliridde mu kutereeza enkalala zabasomesa nabakozi mu masomero.

Entekateeka eno yatandise olunnku lweggulo mu Buganda, mu masomero ga secondary nemu matendekero aga waggulu oluvanyuma yakubunyisbwa nawalala.

Lukwago Asuman, omuwandiisi wakakiiko kano agambye nti batekeddwa okubeera nazo atenga ebirala kuliko okubeera nebbaluwa za poliisi.

Okukakasa nokunyweza emirimu gyabwe batekeddwa okubeera nebyetaago 100% oba 90% nga nabo bajja kubayisaawo.

Alabudde nti bebanasanga nga tebalina biwandiiko ebimu ebyetagibwa, bajja kunonyerezebwako.