Amawulire

Emyaka 20 ng’ekitta bantu kibaddewo- abazungu bejjusa

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

genocide

Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bakyalina ensonyi ku biki ebyatuuka mu ggwanga lya Rwanda emyaka 20 emabega.

Ssabawandiisi w’ekibiina kino Ban Ki Moon agamba nti bakywulira bubi nti tebalina kyebaakola kutangira kitta bantu kino.

Bino abyogeredde ku mukolo gw’okukungubagira abantu abattibwa mu kitta bantu mu ggwanga lya Rwanda

Abantu abazze mu kukungubaga bangi bagamba nti bazze baguma yadde abamu tebasigaza baabwe

Abantu emitwaalo 80 beebafiira mu kitta bantu kino ng’abasinga okufa bali batuusi